Genesis 49

Yakobo Asabira Batabani be Omukisa

1 aAwo Yakobo n’ayita batabani be n’abagamba nti, Mukuŋŋaane, ndyoke mbategeeze ebiribabaako mu nnaku ezijja.

2 bMukuŋŋaane muwulire, mwe abaana ba Yakobo,
muwulirize Isirayiri kitammwe.

3 cLewubeeni ggwe mubereberye wange,
amaanyi gange, ebibala ebibereberye eby’amaanyi gange,
ekitiibwa n’obuyinza ebiyitirivu.
4 dNaye tafugika, oli ng’amayengo g’ennyanja, naye tokyali wa kitiibwa,
kubanga walinnya ekitanda kya kitaawo,
mu nnyumba yange, n’okyonoona.

5 eSimyoni ne Leevi baaluganda,
ebitala byabwe byakulwanyisa bya maanyi.
6 fAyi omwoyo gwange teweetaba mu kuteesa kwabwe.
Ayi omwoyo gwange teweegatta nabo.
Kubanga mu busungu bwabwe batta abantu,
olw’okwekulumbaza kwabwe baatema ente olunywa.
7 gObusungu bwabwe bukolimirwe, kubanga bungi;
n’obukambwe bwabwe, kubanga bwa ttima.
Ndibaawula mu Yakobo,
ndibasaasaanya mu Isirayiri.

8 hYuda gwe baganda bo banaakutenderezanga.
Omukono gwo gunaatulugunyanga abalabe bo.
Abaana ba kitaawo banaakuvuunamiranga.
9 iYuda, mwana w’empologoma.
Oyambuse mwana wange, ng’ovudde ku muyiggo.
Yakutama, yabwama ng’empologoma.
Ddala ng’empologoma enkazi, ani anaakweŋŋanga?
10 jEra omuggo gw’omufuzi teguuvenga wakati wa bigere bya Yuda,
okutuusa Siiro lw’alijja;
era oyo amawanga gonna
gwe ganaawuliranga.
11Alisiba endogoyi ku muzabbibu,
n’omwana gw’endogoyi ku muzabbibu ogusinga obulungi,
ayoza ebyambalo bye mu nvinnyo,
n’engoye ze mu musaayi gwe zabbibu.
12Amaaso ge galimyuka wayini,
n’amannyo ge galitukula okusinga amata.

13 kZebbulooni alibeera ku mabbali ga nnyanja;
anaabanga mwalo gw’amaato,
ensalo ze ziriba ku Sidoni.

14 lIsakaali ndogoyi ya maanyi,
ng’akutama wakati mu bisibo by’endiga;
15yalaba ng’ekifo ky’okuwummuliramu kirungi;
nga n’ensi esanyusa;
n’alyoka akkakkanya ekibegabega kye okusitula,
n’afuuka omuddu ow’okukozesebwanga emirimu egy’obuwaze.

16 mDdaani anaalamulanga mu bwenkanya abantu be
ng’ekika ekimu ku bika bya Isirayiri.
17 nDdaani anaaba musota mu kkubo,
essalambwa ku kkubo,
eriruma ebisinziiro by’embalaasi,
omwebagazi waayo alyoke agwe emabega waayo.

18 oNnindirira obulokozi bwo, Ayi Mukama.

19 pGaadi alirumbibwa ogubiina gw’abanyazi,
naye ye, alibafubutukira emabega.

20 qAseri emmere ye eneebanga ngimu,
era anaagemuliranga kabaka ebyokulya.

21 rNafutaali mpeewo ya ddembe,
avaamu ebigambo ebirungi.

22 sYusufu lye ttabi eribala ennyo,
ettabi eribala ennyo eriri ku mugga;
abaana be babuna bbugwe.
23 tAbalasa obusaale baamulumba bubi nnyo,
baamulasa ne bamulumya nnyo;
24 unaye omutego gwe ne gunywera,
n’emikono gye ne gitasagaasagana.
Olw’omukono gwa Ayinzabyonna owa Yakobo,
olw’Omusumba, Olwazi lwa Isirayiri,
25 volwa Katonda wa kitaawo, akuyamba,
olwa Ayinzabyonna akuwa omukisa,
omukisa oguva waggulu mu ggulu,
omukisa ogwa wansi mu buziba,
omukisa ogw’omu lubuto ne mu mabeere.
26 wOmukisa gwa kitaawo
gusinga omukisa gwa bajjajjange,
gusinga egyo egyaweebwa bajjajja ab’edda.
Gino gyonna gibeere ku mutwe gwa Yusufu,
gibeere ne ku bukowekowe bw’oyo eyayawukanyizibwa ne baganda be.

27 xBenyamini musege ogunyaga,
mu makya alya omuyiggo,
mu kawungeezi n’agaba omunyago.
28Ebyo byonna by’ebika ekkumi n’ebiriri ebya Isirayiri, era ebyo kitaabwe bye yayogera nabo ng’abasabira omukisa. Buli omu ng’amusabira omukisa ogumusaanira.

Okufa kwa Yakobo

29 yOluvannyuma n’abakuutira n’abagamba nti, “Nditwalibwa eri abantu bange gye baatwalibwa. Munziikanga wamu ne bajjajjange, mu mpuku eri mu nnimiro ya Efulooni Omukiiti, 30 zmu mpuku eri mu nnimiro ya Makupeera, okumpi ne Mamule, mu nsi ya Kanani, Ibulayimu gye yagulira mu nnimiro, okuva ku Efulooni Omukiiti. Yagigula okuba obutaka bw’okuziikangamu. 31 aaAwo we waaziikibwa Ibulayimu ne Saala mukazi we, era ne Isaaka ne Lebbeeka mukazi we, we baaziikwa, era awo we naziika Leeya. 32Ennimiro n’empuku erimu byagulibwa okuva ku baana ba Kesi.”

33 abYakobo bwe yamala okukuutira batabani be, n’azaayo ebigere bye mu kitanda, n’assa omukka ogw’enkomerero n’afa n’akuŋŋaanyizibwa eri abantu be.

Copyright information for LugEEEE